top of page

LUBAALE KYEKKI?

  • YouTube

Lubaale gy'emyoyo egiramulira mu lubaale (Universe) Era nga gino emyooyo gyatondebwa Katonda yennyini nagigabanyizako ku buyinza bwe gimuyambeko okulamula ensi eno era nagiwa obuyinza obwenkomeredde, emyoyo gino gyabika bibiri, waliwo egitudde mu butonzi nga Katonda yagitonda n'emikono gye era newabaawo n'egitudde mu "Buzaale" nga gino gyazalibwa okuva mu Lubale lwabakyala oba okuzalibwa nga abantu, gino egyazalibwa gyagabanako ku buyinza nagiri  egyatondebwa okuva mu ngalo za Katonda direct kyova olaba bwetuba twogera ku myoyo nga Kibuukaa omumbaale waliwo Kibuukak owoluberebere kyokka ate waliwo ne Kibuuka eyalinga omulyammere era nga mulwanyi namige, bwetwogera ku Kabaka Ndawula waliwo eyakka nga emunyenye kyokka ate waliwo Ndawula eyazalibwa nga omuntu,Bwetogera ku Kiwanuka waliwo Kiwanuka eyakkira mu bikaliriro byenjuba "Senjuba" newabaawo ne Kiwanuka eyazalibwa e Ssese era nga yali mwana wa Wannema/Kitinda era nga yalina baganda be nga Musoke eyali Omukulu, Kiwanuka eyali amuddako wamu ne Mukasa eyali omuto era nga yeyamalawo obusungu obwaliwo nga bakulu be bazalibwa, oluvannyuma Mukasa yakwasibwa obwakabaka bw'Essese era nga kati yekabaka w'amazzi

© 2022 Okumanya N'okutegeera. Proudly created by Mbuga Eramula +256704540222

bottom of page